Luke 20:3-8

3Yesu n’addamu nti, “Nange ka mbabuuze ekibuuzo kino. 4 aOkubatiza kwa Yokaana kwava eri Katonda nandiki kwava mu bantu?”

5Ne basooka okwogeraganyaamu bokka ne bokka nga bagamba nti, “Bwe tunaagamba nti, ‘Kwava mu ggulu,’ ajja kutubuuza nti, ‘Kale, lwaki temwamukkiriza?’ 6 bNaye ate bwe tunaddamu nti, ‘Kwava mu bantu,’ abantu bonna bajja kutukuba amayinja, kubanga bamatizibwa nti Yokaana yali nnabbi.”

7Kyebaava baddamu nti, “Tetumanyi gye kwava.”

8Yesu n’abagamba nti, “Nange sijja kubabuulira gye nzigya obuyinza obunkozesa bino.”

Copyright information for LugEEEE